I like it when women are at the center of change and this is no different in the case of Juliet Namukasa a woman I look up to, she is a country director for IAS (International Aid Services) an organisation dedicated to help the refugees in Uganda and providing safe spaces for people that have been affected by war. On top of making a world a better place in her career she is a “senga”to many ladies at Redeemed church, a youth mentor and a very talented writer of poetry and here is one of her poems sensitizing the public about COVID-19.
Here is Totusemberera- Keep the social distance lyrics to recite along and at the end of this is the link the video, enjoy.
Defining the problem
Gwanga mujje Gwanga mujje Omuzigu alumbye Ye Covid 19.
O Mutasire eyo Mutasosola ono mutataliza, Yesibye ammanyi –
Obuswandi bumujjudde, ekiruyi kimwetimbye tasalikako musale.
Gyayise yonna kati kiyongobero Biwoobe byelele.
,.Mu baggaga ab’omunsi olweyo lwakutte, Aakunya Abato, bakinviinvi akinjaga.
Uganda oyo gw’omanyi enfumita ha, fungize wattu, ammanyi wesibe
musululu moja, emabega wa Commander nebyokulwanyisa byaffe.
Stay home, tuuza nniya waka, keep, the social distance, nze ntonseberera .
Engalo mu kyovu kyasabuni munabe, ne sanitizer.
Bbana Uganda united we stand twogera kimu nti corona virus totusembera
Possible cause
Corona virus n’omwana wo ono Covid 19 ani yabatuma
Maama Nze Bwaba Katonda w’eggulu, ensonga erimu egumba
Gwaatusinze dda, teli kuwoza
Bangi tubatidde mu maanyi nga, tebalebye njuba,
ensonga mbu,dembe lya bakyala
Mulinya lya nnamwandu ne bamulwekwa laba obugaga ffe twetumidde
Ku mmeza Y’embaga tutula netulya netwegwera,
ababunda bunda nga beyaguza lujjo
Obwongo obunafu,twelabira mangu ebyobyeyakola Sodoma aa neyo Gommora,
Mbu gwe eyatonda ekisajja nekikazi hm wateesa bubi.
Netutigatiga ekigambo kyo netukuwanda ebigambo mu kamwa
Twakolaba byona nasirika netulowaza nti twenkanankana ye.
Ssasira ssebo taasa corona virus tetusemberera
Remedy
Uganda tuddemu amanyi,
Obusungu bwa Yakuwa buberera akasera mpawo wekaaga
naye okusarira kwa mirembe gyona.
Emmeme emenyese n’ omutima oguboneredde Oyo Yakuwa tabigaya.
mwe abatumiddwa erinnya lya Yakuwa, mwesibe ebitukuttu Amavivi wansi,
Wozi anataasa, emambya anesala natte.
mu lutalo, ttasa mujjasi munno, gwe alina akatta, eyetaaga muwe.
Nnamwe abakuba ensamba ggere bajjasi banamwe mubasasire
Tulina omulabe omu Corona virus
Aftermath
Tugume emwoyo waliwo essubi Agya tusasira Yakuwa.
Omumpembe Corona Virus nga tumulinye kunffete
, mungudo za Uganda, tujjaganye nate.
Eri Commander waffe, nnabadumizi be, salute tutowe,
badumidde bulungu n ‘obuvumu
Engalo tunabye ng’eyo efuuse nkoola, emaso, nyindo mimwa nabyo bijaganye
Olwo bana Uganda twogere ffena nti kibi kigwana wala Corona virus tatusembereranga
Eno Yakuwa tumusembere kulwa Katonda n’ensi yaffe
#StayHomeStaySafe
Keep distance and follow the rules and guidelines by the ministry of health.
Well done. You challenge me with your passion. But I am coming
Well done Senga am always encouraged by ur words,God bless u